Nehemiah 11:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Petakiya mutabani wa Mesezabeli okuva mu basibuka mu Zeraki, mutabani wa Yuda, ye yalinga omubaka wa kabaka eyakolanga ku nsonga zonna ezikwata ku bantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Pesakiya mutabani wa Mesezaberi, omu ku bazzukulu ba Zeera mutabani wa Yuda, ye yali omusigire wa Kabaka, ku nsonga zonna ez’abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Pesakiya mutabani wa Mesezaberi ow'oku baana ba Zeera mutabani wa Yuda, ye yalinga omukono gwa kabaka w'e Buperusi mu bigambo byonna eby'abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Petahiya mutabani wa Mesezabeli ow'omu nnyumba ya Zeera mu kika kya Yuda, ye yakiikiriranga Abayisirayeli ewa kabaka w'e Perusiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Pesakiya mutabani wa Mesezaberi ow'oku baana ba Zeera mutabani wa Yuda yabanga ku mukono gwa kabaka olw'ebigambo byonna eby'abantu.