Nehemiah 11:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano be bakulembeze b'ebitundu abaasenga mu Yeruzaalemu n'abo abaasenga mu bibuga bya Yuda. Bo abamu ku Bayisirayeli, bakabona, Abaleevi, abaweereza b'omu Kiggwa n'ab'abaweereza ba Solomoni baasulanga buli omu mu butaka bwe, mu bibuga byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bano be bakungu b’amasaza abaasenga mu Yerusaalemi: Abayisirayiri abamu, nga mwe muli bakabona n’Abaleevi, n’abaweereza ab’omu yeekaalu, ne bazzukulu ba baddu ba Sulemaani; buli omu yabeeranga ku ttaka lye mu kibanja kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bano be bakulu b'essaza abaabeeranga mu Yerusaalemi; naye mu bibuga bya Yuda ne mubeeramu buli muntu mu butaka bwe mu bibuga byabwe, Isiraeri, bakabona, n'Abaleevi, n'Abaweereza b'omu Yeekaalu, n'abaana b'abaddu ba Sulemaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Abayisirayeli abalala ne bakabona, n'Abaleevi, n'abakozi b'omu Ssinzizo, n'abazzukulu b'abaddu ba Solomooni, babeeranga mu bibanja byabwe mu bibuga ebirala ebya Buyudaaya. Bano be batuuze abakulu mu kitundu kya Buyudaaya abaabeeranga mu Yerusaalemu:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bano be bakulu b'essaza abaabeeranga mu Yerusaalemi: naye mu bibuga bya Yuda ne mubeeramu buli muntu mu butaka bwe mu bibuga byabwe, Isiraeri, bakabona n'Abaleevi n'Abanesinimu n'abaana b'abaddu ba Sulemaani.