Nehemiah 11:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu Yeruzaalemu mwasulangamu ku bamu ku bantu ba Yuda ne ku bamu ku bantu ba Benyamiini. Ab'omu bantu ba Yuda: Ataaya, mutabani wa Wuzziya, mutabani wa Zakariya, mutabani wa Amariya, mutabani wa Sefatiya, mutabani wa Maalaleeli ava mu lulyo lwa Perezi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu Yerusaalemi mwabeerangamu abamu ku bazzukulu ba Yuda, n’abamu ku bantu abaava mu Benyamini. Bazzukulu ba Yuda abaasenga eyo be bano: Ataya mutabani wa Uzziya, muzzukulu wa Zekkaliya, muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Sefatiya, muzzukulu wa Makalaleri, ow’omu lulyo lwa Pereezi;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mu Yerusaalemi ne mubeeramu abamu ku baana ba Yuda, n'abamu ku baana ba Benyamini. Ku baana ba Yuda mwalimu: Ataya mutabani wa Uzziya mutabani wa Zekkaliya mutabani wa Amaliya mutabani wa Sefatiya mutabani wa Makalaleri ow'oku baana ba Pereezi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mwalimu abamu ku bazzukulu ba Yuda, n'abamu ku bazzukulu ba Benyamiini. Mu bazzukulu ba Yuda, mwalimu Ataya mutabani wa Wuzziya era muzzukulu wa Zekariya, Zekariya mutabani wa Amariya, Amariya mutabani wa Sefatiya, Sefatiya mutabani wa Mahalaleeli, asibuka mu Pereezi, mutabani wa Yuda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mu Yerusaalemi ne mubeeramu abamu ku baana ba Yuda ne ku baana ba Benyamini. Ku baana ba Yuda: Ataya mutabani wa Uzziya mutabani wa Zekkaliya mutabani wa Amaliya mutabani wa Sefatiya mutabani wa Makalaleri ow'oku baana ba Pereezi;