Nehemiah 11:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna abasibuka mu Perezi abaasulanga mu Yeruzaalemu nga bawera abasajja abeesobola ebikumi bina mu nkaaga mu munaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bazzukulu ba Pereezi abaasenga mu Yerusaalemi baawerera ddala abasajja ebikumi bina mu nkaaga mu munaana (468), abaali abalwanyi abazira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batabani ba Pereezi bonna abaabeera mu Yerusaalemi baali bina mu nkaaga mu munaana (468) abasajja abazira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bazzukulu ba Pereezi bonna abaabeeranga mu Yerusaalemu, baali ebikumi bina mu nkaaga mu munaana, abasajja abazira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Batabani ba Pereezi bonna abaabeera mu Yerusaalemi baali ebikumi bina mu nkaaga mu munaana abasajja abazira.