Nehemiah 11:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoweli mutabani wa Zikuri, eyali omwami abakulira, ne Yuda mutabani wa Kassenuwa eyali omukulu w'Eggombolola ey'Okubiri ey'ekibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoweeri mutabani wa Zikuli ye yali omulabirizi waabwe, ne Yuda mutabani wa Kassenuwa nga ye mukulu w’Ekitundu Ekyokubiri eky’ekibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Yoweeri mutabani wa Zikuli ye yali omulabirizi waabwe, ne Yuda mutabani wa Kassenuwa ye yali ow'okubiri okufuga ekibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoweeli mutabani wa Zikuri ye yali omukulembeze waabwe, ne Yuda mutabani wa Hassenuwa, ye yali omumyuka w'omukulu w'ekibuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Yoweeri, mutabani wa Zikuli ye yali omulabirizi waabwe: ne Yuda mutabani wa Kassenuwa ye yali ow'okubiri okufuga ekibuga.