Nehemiah 12:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe ez'Abaleevi n'eza bakabona mu budde bwa Eliyasibu, Yoyada, Yokanani ne Yadduwa baawandiikibwa okutuusa mu biseera bya Dariyo owa Buperusi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakulu b’ennyumba z’Abaleevi abaakola mu biro bya Eriyasibu, ne Yoyada, ne Yokanaani ne Yadduwa, awamu ne bakabona, baawandiikibwa mu mirembe gya Daliyo Omuperusi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaleevi mu nnaku za Eriyasibu, Yoyada, Yokanani ne Yadduwa, ne bawandiikibwa nga be bakulu b'ennyumba za bakitaabwe; era ne bakabona ne bawandiikibwa okutuusa nga Daliyo Omuperusi ye kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mirembe gya bassaabakabona Eliyasibu ne Yoyaada, ne Yohanaani, ne Yadduwa, Abaleevi ne bawandiikibwa mu kitabo ky'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe. Ne bakabona nabo ne bawandiikibwa, okutuusa ku mulembe gwa Dariyo nga ye kabaka w'e Perusiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaleevi mu nnaku za Eriyasibu, Yoyada ne Yokanani ne Yadduwa, ne bawandiikibwa nga gye mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe: era ne bakabona, Daliyo Omuperusi nga ye kabaka.