Nehemiah 12:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bazzukulu ba Leevi abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe baawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo okutuusa mu budde bwa Yokanani mutabani wa Eliyasibu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakulu b’enju abaava mu bazzukulu ba Leevi okutuuka ku mulembe gwa Yokanaani mutabani wa Eriyasibu, ne bawandiikibwa mu bitabo eby’ebyafaayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batabani ba Leevi, abakulu b'ennyumba za bakitaabwe, ne bawandiikibwa mu Kitabo eky'Eby'omu mirembe okutuusa ku nnaku za Yokanani mutabani wa Eriyasibu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakulu b'ennyumba z'Abaleevi, baawandiikibwa mu kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka, okutuuka mu biseera bya Yohanaani, mutabani wa Eliyasibu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Batabani ba Leevi, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe, ne bawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumirembe okutuusa ku nnaku za Yokanani mutabani wa Eriyasibu.