Nehemiah 12:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakulu b'Abaleevi baali: Kasabiya, Sarebiya, Yeswa mutabani wa Kadumiyeli ne baganda baabwe; baayimiriranga mu maaso gaabwe mu kutendereza n'okwebaza, ng'oludda olumu luwaanyisaganya n'olulala, nga Dawudi omuntu wa Katonda bwe yaleka alagidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakulembeze b’Abaleevi baali: Kasabiya, ne Serebiya, ne Yesuwa mutabani wa Kadumyeri, n’abaabayambangako nga baboolekedde, nga batendereza era nga beebaza, ng’ekibinja ekimu kiddamu ekirala kye biyimba, nga Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abakulu b'Abaleevi: Kasabiya, Serebiya ne Yesuwa mutabani wa Kadumyeri ne baganda baabwe nga baboolekedde n'ebatenderezanga n'okwebazanga ng'ekiragiro bwe kyali ekya Dawudi omusajja wa Katonda, ekibinja nga kyolekedde ekibinja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Hasabiya ne Serebiya, ne Yeswa mutabani wa Kadumyeli be baali abakulu b'Abaleevi. Baatunuuliragananga ne baganda baabwe okuyimba ennyimba ez'okutendereza n'okwebaza Katonda, ng'oludda olumu luyimba ebiddibwamu, nga Dawudi, omuntu wa Katonda, bwe yalagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abakulu b'Abaleevi: Kasabiya ne Serebiya ne Yesuwa mutabani wa Kadumyeri ne baganda baabwe nga baboolekedde okutenderezanga n'okwebazanga ng'ekiragiro bwe kyali ekya Dawudi omusajja wa Katonda, ekisanja nga kyolekera ekisanja.