Nehemiah 12:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mattaniya, Bakubukiya, Obadiya Mesullamu, Talumoni ne Akkubu baali baggazi era nga be bakuuma amawanika agaalinga ku miryango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mattaniya, ne Bakubukiya, ne Obadiya, ne Mesullamu, ne Talumoni, ne Akkubu be baakuumanga amawanika g’oku miryango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mattaniya, Bakubukiya, Obadiya, Mesullamu, Talumooni ne Akkubu be baali abaggazi nga bakuuma amawanika ag'oku miryango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mattaniya, ne Bakubukiya, ne Obadiya, ne Mesullamu, ne Talumooni, ne Akkubu, be baali abaggazi abaakuumanga amawanika ag'oku miryango gy'Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mattaniya ne Bakubukiya ne Obadiya ne Mesullamu ne Talumooni ne Akkubu be baali abaggazi nga bakuuma amawanika ag'oku miryango.