Nehemiah 12:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku kutukuza bbugwe wa Yeruzaalemu baanoonya Abaleevi yonna gye baali, ne babaleeta mu Yeruzaalemu batukuze mu ssanyu ne mu nnyimba ez'okwebaza, nga bayimbira ku nsaazo, entongooli n'ennanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo okutukuza kwa bbugwe wa Yerusaalemi bwe kwatuuka, ne banoonya Abaleevi okuva gye baabeeranga, ne baleetebwa e Yerusaalemi okujaguza nga bwe bayimba n’okukuba ebitaasa n’entongooli n’ennanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baatukuza bbugwe wa Yerusaalemi, ne banoonya Abaleevi mu bifo byabwe byonna, okubaleeta e Yerusaalemi, okukwata embaga ey'okutukuza n'essanyu, nga beebaza era nga bayimba, nga balina ebitaasa n'entongooli n'ennanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ekiseera bwe kyatuuka okutukuza ekisenge kya Yerusaalemu, ne bakuŋŋaanya Abaleevi yonna gye baali, bajje e Yerusaalemu, beetabe mu kijaguzo eky'okutukuza ekisenge, bayimbe ennyimba ez'okwebaza, nga bakuba ebitaasa n'ennanga, n'okufuuwa endere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)