Nehemiah 12:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'okuva mu Beti-Gilugali, ne mu bitundu by'e Geba ne Azumaveti, kubanga abayimbi baali beezimbidde ebyalo okwetooloola Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’okuva mu Besugirugaali, n’okuva mu bitundu by’e Geba n’e Azumavesi; abayimbi baali beefunidde ebyalo okwetooloola Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ne mu Besugirugaali ne mu nnimiro ez'oku Geba ne Azumavesi; kubanga abayimbi baali beezimbidde ensiisira okwetooloola Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne Betigilugaali ne mu kitundu ky'e Geba, ne Azumaveti, kubanga abayimbi abo baali beezimbidde mu byalo ebyetoolodde Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ne mu Besugirugaali ne mu nnimiro ez'oku Geba ne Azumaveesi kubanga abayimbi baali beezimbidde ensiisira okwetooloola Yerusaalemi.