Nehemiah 12:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakungu ba Yuda nabalinnyisa waggulu ku bbugwe, ne nteekawo ebibiina bibiri ebinene eby'abayimbi abatendereza. Ekibinja ekimu kyali kya kukulemberamu waggulu ku bbugwe nga kidda ku ludda olwa ddyo eri Omulyango gw'Olubungo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndyoka ntwala abakulembeze ba Yuda waggulu ku bbugwe, ne ndagira n’ebibinja bibiri eby’abayimbi okwebaza. Ekimu kyalaga waggulu wa bbugwe ku mukono ogwa ddyo, n’ekirala ne kiraga ku Mulyango gw’Obusa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne nnyambusa abakulu ba Yuda ku bbugwe, ne nteekawo ebibiina bibiri ebinene abeebaza ne batambula nga basimbye ennyiriri; ekimu nga kitambulira ku mukono ogwa ddyo ku bbugwe mu kkubo ery'omulyango ogw'obusa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne mpita abakulu b'omu Buyudaaya ne balinnya ku ntikko y'ekisenge. Ne mbaawulamu ebibinja bibiri ebyagendanga bikumba okwetooloola ekibuga, nga byebaza Katonda. Ekibinja ekimu ne kitambula nga kidda ku mukono ogwa ddyo okwolekera Omulyango gw'Ebisasiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne nnyambusa abakulu ba Yuda ku bbugwe, ne nteekawo ebibiina bibiri ebinene abeebaza ne batambula nga basimbye ennyiriri; ekimu nga kitambulira ku mukono ogwa ddyo ku bbugwe mu kkubo ery'omulyango ogw'obusa: