Nehemiah 12:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne waggulu w'Omulyango gwa Efurayimu, okutuuka ku Mulyango Omukadde, ku Mulyango gw'Ebyennyanja, ku Munaala gwa Kananeli, ku Munaala gw'Ekikumi n'okutuuka ku Mulyango gw'Endiga; ne bayimirira ku Mulyango gw'Abakuumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne ku Mulyango gwa Efulayimu, ne ku Mulyango gwa Yesana, ne ku Mulyango gw’Ebyennyanja, n’okutuuka ku Munaala gwa Kananeri, ne ku Munaala gw’Ekikumi, n’okutuukira ddala ku Mulyango gw’Endiga, ne tuyimirira ku Mulyango gw’Abambowa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne tuyita engulu w'omulyango gwa Efulayimu, n'awali omulyango omukadde, n'awali omulyango ogw'ebyennyanja, n'eku Munaala gwa Kananeri, ne ku Munaala gwe Kikumi, okutuusa ku mulyango ogw'endiga; ne bayimirira buyimirizi mu mulyango ogw'abakuumi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne tuyita engulu w'Omulyango gwa Efurayimu, ne ku Mulyango Omukadde, tuutwo ku Mulyango gw'Ebyennyanja, ne ku Munaala gwa Hananeeli, ne ku Munaala ogw'Ekikumi. Ne tuyita ku Mulyango gw'Endiga, ne tutuuka ku Mulyango gw'Abakuumi, awo we twakoma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era engulu w'omulyango gwa Efulayimu, n'awali omulyango omukadde, n'awali omulyango ogw'ebyennyanja, n'ekigo kya Kananeri, n'ekigo kya Kameya, okutuusa ku mulyango ogw'endiga: ne bayimirira buyimirizi mu mulyango ogw'abakuumi.