Nehemiah 12:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibiina byombi eby'abayimbi abatendereza ne biyimirira mu bifo byabyo mu Kiggwa kya Katonda; era nange n'ekitundu ekyokubiri eky'abakulembeze,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebibinja byombi eby’abayimbi ne batuula mu bifo byabwe mu nnyumba ya Katonda; nange ne kimu kyakubiri eky’abakulembeze ne tutuula,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ebibiina byombi eby'abo abeebaliza mu nnyumba ya Katonda ne biyimirira, nange nnenyimirira awamu n'ekitundu ky'abakulu abaali nange;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ebibinja byombi ebyebaza ne biyimirira mu Ssinzizo, era nange bwe ntyo wamu n'ekimu ekyokubiri eky'abakulembeze be nali nabo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ebibiina byombi eby'abo abeebaliza mu nnyumba ya Katonda ne biyimirira, nange n'ekitundu ky'abakulu wamu nange: