Nehemiah 12:43 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo ne baweereza ebitambiro bingi, ne bajaguza, kubanga Katonda yali abawadde essanyu lingi. Abakazi n'abaana nabo ne basanyuka. Okusanyuka mu Yeruzaalemu nga kusobola n'okuwulirwa ewala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo, ne bawaayo ssaddaaka nnyingi nnyo nnyini, nga batendereza kubanga Katonda yali abawadde essanyu lingi nnyo nnyini. Abakazi n’abaana nabo ne basanyukira wamu nabo, era okujaguza okwo mu Yerusaalemi ne kuwulirwa mu bifo eby’ewala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bawaayo ssaddaaka nnyingi ku lunaku olwo ne basanyuka; kubanga Katonda yali abasanyusizza essanyu lingi; era n'abakazi n'abaana abato ne basanyuka. Awo essanyu ery'e Yerusaalemi n'okuwulirwa ne liwulirirwa wala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo ne bawaayo ebitambiro bingi nga bayimba mu maloboozi ag'omwanguka, kubanga Katonda yali abawadde essanyu. Abakazi n'abaana nabo ne beetaba mu kujaguza, era okusanyuka okwo okwali mu Yerusaalemu ne kuwulirwa n'ewala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bawaayo ssaddaaka enkulu ku lunaku olwo ne basanyuka; kubanga Katonda yali abasanyusizza essanyu lingi; era n'abakazi n'abaana abato ne basanyuka: awo essanyu ery'e Yerusaalemi n'okuwulirwa ne liwulirirwa wala.