Nehemiah 12:44 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo baateeka abasajja ku mawanika g'ebitone, ebibala ebisooka n'ekyekkumi bakuŋŋaanyizeemu ebitundu ebiva mu nnimiro z'ebibuga Etteeka bye liragira biweebwenga bakabona n'Abaleevi; kubanga Yuda yali asanyukidde bakabona n'Abaleevi abaali baweereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo, abantu ne balondebwa okulabiriranga amawanika omwaterekebwanga ebyaleetebwanga, nga mwe muli ebibala ebibereberye, ne kimu kya kkumi, nga bireetebwa okuva mu bibanja ebyetoolodde ebibuga, nga bwe kyalagibwa mu Mateeka, ne biweebwa bakabona n’Abaleevi. Yuda baali basanyufu olw’obuweereza bwa bakabona awamu n’obw’Abaleevi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunaku olwo abasajja ne balondebwa ab'okulabiriranga enju ez'amawanika olw'ebiweebwayo ebisitulibwa, olw'ebibala ebibereberye, n'olw'ebitundu eby'ekkumi, okuzikuŋŋaanyizaamu, ng'ennimiro ez'oku bibuga bwe zaali, emigabo egyalagirwa bakabona n'Abaleevi mu mateeka, kubanga Yuda yasanyuka olwa bakabona n'Abaleevi abaaweereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo ne balonda abantu ab'okulabiriranga amaterekero agakuumirwamu ebiweebwayo eby'Essinzizo omuli ekimu eky'ekkumi, emmere ey'empeke n'ebibala bye baasookanga okukungula. Era baalina okukuŋŋaanyizaamu emigabo egiragirwa mu Mateeka okuweebwa bakabona n'Abaleevi, okuva mu nnimiro eziriraanye ebibuga. Abantu b'omu Buyudaaya baasanyuka olwa bakabona Abaleevi abaaweereza,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku lunaku olwo ne balonda abantu okuba abakulu b'enju ez'amawanika olw'ebiweebwayo ebisitulibwa, olw'ebibala ebibereberye, n'olw'ebitundu eby'ekkumi, okuzikuŋŋaanyizaamu ng’ennimiro ez'oku bibuga bwe zaali, emigabo egyalagirwa bakabona n'Abaleevi mu mateeka: kubanga Yuda yasanyuka olwa bakabona n'Abaleevi abaaweereza.