Nehemiah 12:45 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baakolanga omulimu gw'okuweereza Katonda waabwe n'ogw'okutukuza, era nga n'abayimbi n'abaggazi bwe baakolanga, nga Dawudi ne Solomoni mutabani we bwe baaleka bakuutidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabona n’Abaleevi ne bakwata embaga ya Katonda waabwe era ne bagitukuza, n’abayimbi awamu n’abakuumi ba wankaaki nabo ne bakola bwe batyo, ng’ekiragiro kya Dawudi ne Sulemaani mutabani we bwe kyali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era baakwata okuweereza Katonda waabwe, n'okuweereza okw'okwetukuza, era nga n'abayimbi n'abaggazi nabo bwe baakola ng'ekiragiro kya Dawudi bwe kyali n'ekya Sulemaani mutabani we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga baakola emikolo egy'okwetukuza, n'emikolo emirala, Katonda waabwe gye yabalagira. Era abayimbi n'abaggazi, nabo baakola omulimu gwabwe, nga bagoberera ebiragiro bya Dawudi ne mutabani we Solomooni, bye baateekawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era baakwata ebisanja bya Katonda waabwe n'ebisanja eby’okulongoosa, era bwe batyo bwe baakola n'abayimbi n'abaggazi ng'ekiragiro kya Dawudi bwe kyali n'ekya Sulemaani mutabani we.