Nehemiah 12:46 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti edda mu budde bwa Dawudi n'obwa Asafu waaliwo abakulembeze olw'ebibiina by'abayimbi n'olw'ennyimba ez'ettendo n'ez'okwebaza Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro eby’edda, mu biseera bya Dawudi ne Asafu, waabangawo abakulu b’abayimbi, ate nga waliwo n’ennyimba ezaayimbibwanga okutendereza Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mu mirembe gya Dawudi ne Asafu edda waabangawo omukulu w'abayimbi, n'ennyimba ez'okutenderezanga n'okwebazanga Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era okuva edda mu biro bya Dawudi ne Asafu, waaliwo akulira abayimbi, era nga waliwo n'ennyimba ez'okutendereza n'okwebaza Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mu nurembe gya Dawudi ne Asafu edda waabangawo omukulu w'abayimbi, n'ennyimba ez'okutenderezanga dokwebazanga Katonda.