Nehemiah 12:47 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno mu budde bwa Zerubabbeli n'obwa Nekemiya Yisirayeli yenna yawanga emigabo abayimbi n'abaggazi buli lunaku. Era baayawulangako omugabo omutukuvu ogw'Abaleevi, ate n'Abaleevi ne baawulangako omugabo omutukuvu ku lw'ab'ezzadde lya Aroni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo mu biro bya Zerubbaberi ne mu biro bya Nekkemiya, Isirayiri kyeyava ewaayo ebibinja by’abayimbi n’abakuumi ba wankaaki. Ne balonda n’ekibinja ky’Abaleevi abalala, n’Abaleevi nabo ne balondayo ekibinja ekyava mu bazzukulu ba Alooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Isiraeri yenna mu biro bya Zerubbaberi ne mu biro bya Nekkemiya ne bawa emigabo gy'abayimbi n'abaggazi ng'ebyagwaniranga buli lunaku bwe byali; era ne bategeka n'egyo egy'Abaleevi, ate n'Abaleevi ne bategeka egyo egya batabani ba Alooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu biro bya Zerubabbeeli ne mu biro bya Nehemiya, Abayisirayeli bonna baawangayo ebirabo buli lunaku okuyimirizaawo abayimbi n'abaggazi. Era baawangayo n'emigabo gy'Abaleevi, ate Abaleevi ne baawulako emigabo gy'abaana ba Arooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Isiraeri yenna mu biro bya Zerubbaberi ne mu biro bya Nekkemiya ne bawa emigabo gy'abayimbi n'abaggazi ng'ebyagwaniranga buli lunaku bwe byali: ne batukulizanga Abaleevi; Abaleevi ne batukulizanga batabani ba Alooni.