Nehemiah 12:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baganda baabwe Bakubukiya ne Wunni baabayimiriranga awo mu maaso nga baweereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakubukiya ne Unni ne baganda baabwe bo, baayimiriranga nga baboolekedde mu biseera eby’okusinza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ate Bakubukiya ne Unni baganda baabwe ne baayimiriranga okuboolekera mu kuweereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate Bakubukiya, ne Wunno, baganda baabwe, be baayimiriranga mu maaso okuyimba ebiddibwamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Bakubukiya ne Unni baganda baabwe ne baboolekera mu bisanja.