Nehemiah 13:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku Ekitabo kya Musa lwe kyasomerwa abantu, baazuula nga kyawandiikibwa mu kitabo ekyo nti: “Tewabanga Mwammoni oba Mumowabu ayingiranga omulundi n'ogumu mu lukuŋŋaana lwa Katonda,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo, Ekitabo kya Musa ne kisomebwa ng’abantu bawulira, ne bazuula nga kyawandiikibwa nti tewabanga Omwamoni newaakubadde Omumowaabu akkirizibwanga okuyingira mu kuŋŋaaniro lya Katonda,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwo, ne basoma mu kitabo kya Musa abantu nga baawulira; ne basanga nga kyawandiikibwa omwo nti, Omwamoni n'Omumowaabu obutayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Katonda emirembe gyonna;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo, ne basomera abantu mu kitabo kya Musa. Ne basanga nga kyawandiikibwa nti: “Tewali Mwammoni wadde Omumowaabu akkirizibwa kwetaba mu lukuŋŋaana lwa bantu ba Katonda,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku olwo ne basoma mu kitabo kya Musa mu matu g'abantu; ne basanga nga kyawandiikibwa omwo Omwamoni n'Omumowaabu obutayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Katonda emirembe gyonna;