Nehemiah 13:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nanenya abakulembeze, ne mbabuuza nti: “Lwaki Ekiggwa kya Katonda kyagayaalirirwa?” Ne mbakuŋŋaanyaayo ne mbassa mu bifo byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyenava nnenya abakungu ne mbabuuza nti, “Lwaki ennyumba ya Katonda terabiriddwa?” Bonna ne mbayita ne mbagamba bakomewo mu bifo mwe baabeeranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne mpakanya abakulu ne njogera nti, “Kiki ekiresezza ennyumba ya Katonda?” Ne mbakuŋŋaanya ne mbateeka mu kifo kyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne nvunaana abakulu olw'obutafaayo ku Ssinzizo. Bwe ntyo ne nkomyawo Abaleevi, n'abayimbi, ne mbazza mu bifo byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne mpakanya abakulu ne njogera nti Kiki ekiresezza ennyumba ya Katonda? Ne mbakuŋŋaanya ne mbateeka mu kifo kyabwe.