Nehemiah 13:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yuda yenna n'aleeta ekyekkumi eky'eŋŋano, evviini ensu n'omuzigo mu materekero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yuda yenna ne baleeta ekimu eky’ekkumi eky’emmere ey’empeke ne wayini omuggya n’omuzigo, ne babiteeka mu mawanika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo aba Yuda bonna ne baleeta ekitundu eky'ekkumi eky'eŋŋaano n'omwenge n'amafuta mu mawanika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo abantu b'omu Buyudaaya ne baddamu okuleeta ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'eŋŋaano, n'omwenge ogw'emizabbibu, n'omuzigo ogw'emizayiti mu mawanika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abayuda bonna ne baleeta ekitundu eky'ekkumi eky'eŋŋaano n'omwenge n'amafuta eri amawanika.