Nehemiah 13:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnaku ezo nalaba abasajja mu Yuda abasogola ku Sabbaato, n'abasomba eŋŋano nga batikka ku ndogoyi, era n'evviini, ebirimba by'emizabbibu, entontogolo z'emikunyu n'entwala yonna, ne babireeta mu Yeruzaalemu ku Sabbaato. Nabalabula obutatundanga mmere ku olwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo, ne ndaba abasajja mu Yuda, nga basogola omwenge ku Ssabbiiti, era nga baleeta emmere ey’empeke awamu ne wayini, n’emizabbibu, n’ettiini, n’emigugu emirala egya buli ngeri, nga babitisse endogoyi. Bino baali babiyingiza mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti. Kyenava mbalabula obutatunda mmere ku lunaku olwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biro ebyo ne ndaba mu Yuda abantu nga basogola ku Ssabbiiti mu masogolero, era nga bayingiza ebinywa, era nga babiteeka ku ndogoyi zaabwe; era n'omwenge n'ezabbibu n'ettini n'emigugu egy'engeri zonna gye bayingizanga mu Yerusaalemi ku lunaku olwa Ssabbiiti; ne mbalabula ku lunaku olwo obutatundirako eby'okulya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo mu biseera ebyo, ne ndaba abantu b'omu Buyudaaya nga basogola omubisi gw'emizabbibu ku lunaku lwa Sabbaato. Abalala baali batikka ku ndogoyi zaabwe ebinywa by'eŋŋaano, n'omwenge ogw'emizabbibu, n'emizabbibu, n'emizayiti, n'emigugu egya buli ngeri, nga babireeta mu Yerusaalemu. Nabalabula obutatunda kintu na kimu ku lunaku lwa Sabbaato.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ebyo ne ndaba mu Yuda abantu nga basambira ku ssabbiiti amasogolero, era nga bayingiza ebinywa, era nga babiteeka ku ndogoyi zaabwe; era n'omwenge n'ezabbibu n'ettiini n'emigugu egy'engeri zonna gye bayingiza mu Yerusaalemi ku lunaku olwa ssabbiiti: ne mba omujulirwa eri bo ku lunaku kwe baatundira ebyokulya.