Nehemiah 13:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja okuva e Tiiro abaasulanga mu Yeruzaalemu, baaleetanga ebyennyanja n'ebyamaguzi ebya buli kika ne babiguza abantu ba Yuda ku Sabbaato mu Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu b’e Ttuulo abaatuulanga mu Yerusaalemi, baaleetanga ebyennyanja n’ebyamaguzi eby’engeri ez’enjawulo, nga babitunza abantu ba Yuda mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mwabeeramu abasajja ab'e Ttuulo abaayingizanga ebyennyanja n'ebintu eby'engeri zonna, ne baabiguzanga abaana ba Yuda ne mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja b'omu Tiiro, abaabeeranga mu Yerusaalemu, baaleetanga ebyennyanja n'ebintu ebirala, ne babiguza ab'omu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu, ku lunaku lwa Sabbaato.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mwabeeramu abasajja ab’e Ttuulo abaayingizanga ebyennyanja n'ebintu eby'engeri zonna, ne babaguliza ku ssabbiiti abaana ba Yuda ne mu Yerusaalemi.