Nehemiah 13:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne nnenya abakungu ab'omu Yuda, ne mbagamba nti: “Kiki kino kye mukola okwonoona muti Sabbaato?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nanenya abakulembeze ba Yuda ne mbagamba nti, “Kiki kino eky’ekivve kye mukola nga mwonoona olunaku lwa Ssabbiiti?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne ndyoka mpakanya abakungu ba Yuda ne mbagamba nti, “Kibi ki kino kye mukola ne mwonoona olunaku olwa Ssabbiiti?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne nvunaana abakulembeze mu Buyudaaya, ne mbagamba nti: “Kiki ekibakozesa ekibi kino okwonoona olunaku lwa Sabbaato?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne ndyoka mpakanya abakungu ba Yuda ne mbagamba nti Kibi ki kino kye mukola ne mwonoona olunaku olwa ssabbiiti?