Nehemiah 13:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bino bajjajjammwe si bye baakola, Katonda waffe n'alyoka atuleetera akabi kano konna, ne ku kibuga kino? Ate mmwe mwongera kusiikuulira Yisirayeli busungu nga mwonoona Sabbaato?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bajjajjammwe tebaakola bintu bye bimu, Katonda waffe n’alyoka aleeta ekikangabwa kino kyonna ku ffe ne ku kibuga kyaffe kino? Kaakano mwongera kusiikula kiruyi kirala eri Isirayiri nga mwonoona Ssabbiiti?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bajjajjammwe si bwe baakolanga bwe batyo, era Katonda waffe teyatuleetako bubi buno bwonna ne ku kibuga kino? Era naye mmwe mweyongera okuleeta obusungu bwa Katonda ku Isiraeri nga mwonoona Ssabbiiti.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bajjajjammwe si bwe baakola bwe batyo? Era Katonda si kwe yava okutubonereza, era n'azikiriza ekibuga kino? Kaakati laba mwongera okuleetera Katonda okusunguwalira Yisirayeli, nga mwonoona olunaku lwa Sabbaato.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bajjajjammwe si bwe baakolanga bwe batyo, era Katonda waffe teyatuleetako bubi buno bwonna ne ku kibuga kino? era naye mmwe mweyongera okuleeta obusungu ku Isiraeri nga mwonoona ssabbiiti.