Nehemiah 13:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga tebajja kusisinkana Bayisirayeli na migaati Na mazzi, era baagula Balaamu abavumirire, kyokka Katonda waffe ebikolimo n'abifuula mukisa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga tebaayaniriza Bayisirayiri na mmere newaakubadde amazzi, wabula baagulirira Balamu akolimire Abayisirayiri. Kyokka Katonda waffe yafuula ekikolimo okuba omukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga tebaasisinkana baana ba Isiraeri okubawa emmere wadde amazzi, naye ne bagulirira Balamu abakolimire, era naye Katonda waffe n'afuula ekikolimo okuba omukisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Abayisirayeli bwe baali bava e Misiri, Abammoni n'Abamowaabu, tebaabawa mmere, wadde amazzi. Kye baakola kwe kugulirira Balamu abakolimire. Naye Katonda waffe, ekikolimo n'akifuula omukisa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga tebaasisinkana baana ba Isiraeri nga balina emmere n'amazzi, naye ne bagulirira Balaamu eri bo okubakolimira: era naye Katonda waffe n'afuula ekikolimo okuba omukisa.