Nehemiah 13:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mbalabula, ne mbagamba nti: “Lwaki musula awo ku bbugwe? Bwe munaddamu okukikola, nzija kubakolako.” Okuva ku olwo tebaddayo kujja ku Sabbaato.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka ne mbalabula nga mbagamba nti, “Lwaki musula awo ku bbugwe? Bwe munaddamu okukikola nzija kubabonereza.” Okuva ku olwo tebaddayo kujja ku Ssabbiiti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndyoka mbeera omujulirwa eri bo ne mbagamba nti, “Kiki ekibasuza okwetooloola bbugwe? Bwe mulikola bwe mutyo nate, ndibakwata.” Awo okuva ku lunaku olwo ne baatakomawo nate ku Ssabbiiti.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ne mbalabula, ne mbagamba nti: “Lwaki musula ebweru w'ekibuga? Bwe munaddamu okusulayo omulundi omulala, nja kubakwata.” Okuva ku olwo tebaakomawo ku lwa Sabbaato.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndyoka mbeera omujulirwa eri bo ne mbagamba nti Kiki ekibasuza okwetooloola bbugwe? bwe mulikola bwe mutyo nate, ndibakwata. Awo okuva ku lunaku olwo ne batajjira nate ku ssabbiiti.