Nehemiah 13:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne ŋŋamba Abaleevi beetukuze, bagende bakuume emiryango, Sabbaato ekuumibwe nga ntukuvu. N'olwa kino, ayi Katonda wange, nzijukira, onsaasire ng'oggya ku kisa kyo ekingi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndyoka ndagira Abaleevi okwetukuza bagende bakuume emiryango, okusobola okukuuma olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu. Onzijukire olwa kino nakyo Ayi Katonda wange, era ondage ekisa okusinziira ku kwagala kwo okungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne ndagira Abaleevi okwetukuza, era n'okujja okukuuma enzigi, okutukuza olunaku olwa Ssabbiiti. Onjijukiriranga, ayi Katonda wange, na kino, onsonyiwe ng'okusaasira kwo bwe kwenkana obungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ndagira Abaleevi beetukuze, era bajje bakuume emiryango, okukakasa nti Sabbaato ekuumibwa nga ntukuvu. Ayi Katonda wange onzijukiranga n'olwa kino, era onsaasire olw'ekisa kyo ekingi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne ndagira Abaleevi okwerongoosa, era okujja okukuuma enzigi okutukuza olunaku olwa ssabbiiti. Onjijukiriranga, ai Katonda wange, na kino, onsonyiwe ng'okusaasira kwo bwe kwenkana obungi.