Nehemiah 13:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyakubiri eky'abaana baabwe baali boogera lulimi lwa Asudodi, oba olulimi lw'abantu bano oba bali, nga tebamanyi kwogera Luyudaaya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kimu kyakubiri ku baana baabwe baali boogera olulimi lw’Abasudodi, oba olumu ku nnimi z’abantu abalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'abaana baabwe baayogeranga lulimi lwa ba Asudodi, so nga tebaayinza kwogera lulimi lwa Bayudaaya, naye ng'olulimi olwa buli ggwanga lyabali bwe lwali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kimu kyakubiri eky'abaana baabwe baali boogera lulimi Olusudoodi oba olulimi olw'abantu ab'eggwanga eddala, kyokka nga tebayinza kwogera lulimi Luyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abaana baabwe baayogeranga ekitundu lulimi lwa Asudodi so tebaayinza kwogera lulimi lwa Bayudaaya, naye ng'olulimi olwa buli ggwanga bwe lwali.