Nehemiah 13:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mbanenya, ne mbavumirira. Abamu mu bo ne mbakuba, ne mbakuunyuulako enviiri, ne mbalayiza mu linnya lya Katonda nti: “Temufumbizanga bawala bammwe batabani baabwe, yadde okuwasiza batabani bammwe bawala baabwe, oba mmwe okubawasa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mbanenya ne mbakolimira. Ne nkubako abamu ku basajja abo Abayudaaya, ne mbakuunyuulako enviiri. Ne mbalayiza mu linnya lya Katonda nga mbagamba nti, “Temuwangayo bawala bammwe kufumbirwa batabani baabwe, wadde bawala baabwe okufumbirwa batabani bammwe, oba mmwe mwennyini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne mbawakanya ne mbakolimira ne nkubako abamu ne nkuunyuula enviiri zaabwe ne mbalayiza Katonda nti, “Temuwanga batabani baabwe bawala bammwe, so temutwaliranga batabani bammwe bawala baabwe, newakubadde mmwe bennyini temuubawasenga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mbavunaana era ne mbakolimira. Abamu ne mbakuba era ne mbakuunyuula enviiri. Awo ne mbalayiza Katonda nti: “Temukkirizenga bawala bammwe kufumbirwa batabani ba bagwira wadde batabani bammwe okuwasa bawala baabwe, era nammwe temuubawasenga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne mbawakanya ne mbakolimira ne nkubako abamu ne nkuunyuula enviiri zaabwe ne mbalayiza Katonda nti Temuwanga batabani baabwe bawala bammwe, so temutwaliranga batabani bammwe bawala baabwe, newakubadde mmwe bennyini.