Nehemiah 13:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Si bya ngeri eno ebyaleetera Solomoni kabaka wa Yisirayeli okwonoona? Mazima, mu mawanga mangi tewabanga kabaka amufaanana; yayagalibwa Katonda we, Katonda n'amuteekawo afuge Yisirayeli yenna; naye ye mwene abakazi abagwira baamuleetera okugwa mu kibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okufumbiriganwa okw’engeri eyo, si kwe kwaleetera Sulemaani kabaka wa Isirayiri okwonoona? Mu mawanga gonna, tewaali kabaka nga ye. Yali ayagalibwa nnyo Katonda, era Katonda yamufuula kabaka wa Isirayiri yonna, kyokka abakazi bannaggwanga amalala, baamuwabya, n’akola ebibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sulemaani kabaka wa Isiraeri teyeyonoona olwa abakazi ng'abo? Naye mu mawanga mangi temwali kabaka amwenkana, era yayagalibwa Katonda we, era Katonda n'amufuula kabaka wa Isiraeri yenna, era nate n'oyo abakazi ab'amawanga ne bamwonoonyesa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mbagamba nti: “Temumanyi nga Solomooni kabaka wa Yisirayeli abakazi ng'abo be baamuleetera okwonoona? Solomooni yali mututumufu okusinga bakabaka bonna ab'amawanga amalala, era nga yayagalwa nnyo Katonda we, era Katonda yamufuula Kabaka wa Yisirayeli yonna. Kyokka abakazi ab'amawanga amalala baamukozesa ekibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sulemaani kabaka wa Isiraeri teyayonoonanga mu ebyo? naye mu mawanga mangi temwali kabaka amwenkana, era yayagalibwa Katonda we, era Katonda n'amufuula kabaka wa Isiraeri yenna: era nate n'oyo abakazi ab'amawanga ne bamwonoonyesa.