Nehemiah 13:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwagala tuwulirize mmwe, tugwe mu nsobi ennene eyo yonna, twonoone eri Katonda waffe nga tuwasa abakazi abagwira?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate tuwulira nga mukoze ebintu bino ebibi bwe bityo. Temuba beesigwa eri Katonda waffe bwe muwasa abakazi bannamawanga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale tunaawuliriza mmwe, okukolanga obubi obwenkanidde awo okusobya Katonda waffe nga tuwasa abakazi ab'amawanga?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale tunaawuliriza mmwe, ne tukola ekibi ekyenkana awo, ne tulyamu Katonda waffe olukwe, nga tuwasa abakazi ab'amawanga amalala?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale tunaabawulira mmwe okukolanga obubi obwenkanidde awo okusobya Katonda waffe nga tuwasa abakazi ab'amawanga?