Nehemiah 13:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu mu baana ba Yoyada, mutabani wa Eliyasibu kabona omukulu, yali mukoddomi wa Sanuballati Omukoroni; namugoba w'endi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omu ku batabani ba Yekoyaada, mutabani wa Eriyasibu kabona omukulu yali mukoddomi wa Sanubalaati Omukoloni. Ne mmugoba we ndi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omu ku batabani ba Yoyada, mutabani wa Eriyasibu kabona asinga obukulu, yali mukoddomi wa Sanubalaati Omukoloni; kyennava mmugoba okuva wendi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omu ku batabani ba Yoyaada mutabani wa Eliyasibu Ssaabakabona, yali awasizza muwala wa Sanuballati Omuhoroni, kyennava mmugoba we ndi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omu ku batabani ba Yoyada mutabani wa Eriyasibu kabona omukulu, yali mukoddomi wa Sanubalaati Omukoloni: kyennava mmugoba gye ndi.