Nehemiah 13:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baawulira Etteeka, ne baawula mu Yisirayeli bonna ab'endyo engwira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bwe baawulira etteeka eryo, ne bagoba bannaggwanga bonna mu Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka abantu bwe baawulira etteeka eryo, ne balyoka baawula okuva mu Isiraeri ekibiina kyonna eky'abannamawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bwe baawulira Etteeka eryo, ne baggya mu Bayisirayeli abo bonna ab'amawanga amalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe baawulira amateeka, ne balyoka baawula mu Isiraeri ekibiina kyonna eky'abannaggwanga.