Nehemiah 13:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabatukuzaako buli kigwira kyonna, ne nzizaawo buto ebisanja bya bakabona n'eby'Abaleevi, buli omu mu mulimu gwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ntukuza bakabona awamu n’Abaleevi okuva mu buli kintu kyonna ekitali kitukuvu, buli omu ne mmuwa emirimu egy’okukola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe ntyo bwe nnabalongoosa abantu okubaggyako byonna ebya bannamawanga bonna, ne nteekawo ebisanja bya bakabona n'eby'Abaleevi, buli muntu mu mulimu gwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ntukuza abantu okubaggyako byonna eby'ab'amawanga amalala. Bakabona n'Abaleevi ne mbateekerawo ebiragiro eby'okugoberera, nga biraga emirimu gyabwe buli omu;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe ntyo bwe nnabalongoosa eri bannaggwanga bonna, ne nteekawo ebisanja bya bakabona n'eby'Abaleevi, buli muntu mu mulimu gwe;