Nehemiah 13:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne ntereeza endeeta y'enku mu kiseera we ziteekwa okuleeterwa, era bwe ntyo ne ku bibala ebisooka. Nzijukira, ayi Katonda wange, olw'obulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne nteekawo enkola ey’abantu okuwaayo enku mu biseera ebigereke, era n’ebibala ebibereberye. Onzijukire n’okwagala kwo Ayi Katonda wange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ne nkola entegeka olw'ekiweebwayo eky'enku mu biro ebyateekebwawo, n'olw'ebibala ebibereberye. Onjijukiranga, ayi Katonda wange, okunkola obulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era ne nkola entegeka ey'enku ezeeyambisibwa okwokya ebiweebwayo, n'okuzireetanga mu budde obutuufu, era n'abantu okuleeta ebiweebwayo byabwe, eby'ebibala ebisooka okukungulwa. Ayi Katonda wange onzijukiranga n'ompa ebirungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'olwekiweebwayo eky'enku mu biro ebyateekebwawo; n'olw'ebibala ebibereberye. Onjijukiranga, ai Katonda wange, okunkola obulungi.