Nehemiah 13:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka mu kusooka, Eliyasibu kabona, ye yali akulira amaterekero g'Ekiggwa kya Katonda waffe, nga wa luganda lwa kumpi ne Tobiya;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo nga tebinnabaawo, Eriyasibu omu ku bakabona, yali aweereddwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga amawanika g’ennyumba ya Katonda waffe, kyokka nga mukwano nnyo wa Tobiya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ebyo nga tebinnabaawo Eriyasibu kabona eyalondebwa okuba omukulu w'ebisenge eby'omu nnyumba ya Katonda waffe, yali mukoddomi wa Tobiya,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo nga tebinnabaawo, kabona Eliyasibu, eyalondebwa okuba omukulu w'ebisenge by'omu Ssinzizo lya Katonda waffe, yalina enkolagana emugatta ne Tobiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebyo nga tebinnabaawo Eriyasibu kabona eyalondebwa okuba omukulu w'ebisenge eby'omu nnyumba ya Katonda waffe, bwe yali mukoddomi wa Tobiya,