Nehemiah 13:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bino byonna okubeerawo, nze nali siri mu Yeruzaalemu, kubanga mu mwaka ogw'amakumi asatu mu ebiri ogwa Arutakesasuta kabaka w'e Babiloni, nagenda ewa kabaka. Nga wayise ennaku, ne nsaba nve ewa kabaka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka ebyo byonna bwe byali bikolebwa, ssaali mu Yerusaalemi, kubanga mu mwaka ogw’amakumi asatu mu ebiri ogw’obufuzi bwa Alutagizerugizi kabaka w’e Babulooni, nnali nzizeeyo eri kabaka. Oluvannyuma lw’ebbanga, ne nsaba kabaka,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ebyo byonna okubaawo nze nga siri Yerusaalemi, kubanga mu mwaka ogw'asatu mu ebiri (32) ogwa Alutagizerugizi kabaka w'e Babbulooni, nali ŋŋenze eri kabaka. Bwe waayitawo ekiseera, ne mmusaba n'anzikiriza, ne nzirayo e Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo okubaawo, nali siri mu Yerusaalemu, kubanga mu mwaka ogw'amakumi asatu mu ebiri ogw'obufuzi bwa kabaka Arutazeruzeesi ow'e Babilooni, nali nzizeeyo gy'ali okweyanjula. Bwe waayitawo ekiseera, ne mmusaba n'anzikiriza, ne nzirayo e Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mu biro ebyo byonna nze nga siri Yerusaalemi: kubanga mu mwaka ogw'amakumi asatu mu ebiri ogwa Alutagizerugizi kabaka w’e Babulooni ne ŋŋenda eri kabaka, awo nga wayiseewo ennaku, ne ndaga kabaka: