Nehemiah 13:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino tekyansanyusiza ddala, kwe kuddira ebintu bya Tobiya byonna ne mbikasuka ebweru okuva mu kisenge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne nyiiga nnyo era ne nkasuka ebintu bya Tobiya byonna ebweru, okubiggya mu kisenge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne kinnakuwaza nnyo, kyennava nkasuka ebweru ebintu byonna eby'omu nnyumba ebya Tobiya okubiggya mu kisenge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo kyannakuwaza nnyo, kyennava nzigya ebintu bya Tobiya byonna mu kisenge, ne mbikasuka ebweru.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kinnakuwaza nnyo: kyennava nkasuka ebweru ebintu byonna eby'omu nnyumba ebya Tobiya okubiggya mu kisenge.