Nehemiah 13:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nalagira ekisenge bakirongoose, olwo ne nzizaamu ebikozesebwa mu Kiggwa kya Katonda, ebitone eby'obuwunga n'obubaani eby'okuweereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndagira ebisenge bitukuzibwe, n’oluvannyuma ebintu ebyabeeranga mu nnyumba ya Katonda, n’emmere ey’empeke, n’omugavu ne biddizibwamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne ndagira ne balongoosa ebisenge, ne nzizaayo eyo ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda n'ebiweebwayo eby'obutta n'omugavu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ndagira, ne balongoosa ebisenge, ne ndyoka nzizaayo ebintu ebikozesebwa mu Ssinzizo, eby'emmere ey'empeke era n'obubaane.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne ndagira ne balongoosa ebisenge: ne nzizaayo eyo ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda n'ebiweebwayo eby'obutta n'omugavu.