Nehemiah 2:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwezi ogwa Nisani, mu mwaka ogw'amakumi abiri ogwa kabaka Arutakesasuta, evviini n'ereeterwa kabaka, ne nkwata evviini ne ngimuwa. Nali sibangako munakuwavu mu maaso ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu mwezi gwa Nisani mu mwaka ogw’amakumi abiri ku mulembe gwa Kabaka Alutagizerugizi, nga bamuleetedde wayini, ne nzirira wayini ne muwa kabaka. Nnali sinakuwalirangako mu maaso ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka mu mwezi Nisani mu mwaka ogw'abiri (20) ogwa Alutagizerugizi kabaka, omwenge bwe gwali guli mu maaso ge, ne nsitula omwenge ne nguwa kabaka. Era obw'edda bwonna nga sinakuwalirangako mu maaso ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo mu mwezi gwa Nisani, mu mwaka ogw'amakumi abiri ogw'obufuzi bwa Kabaka Arutazeruzeesi, ne mpeereza kabaka omwenge ogwali mu maaso ge. Kabaka yali tandabangako nga ndi munakuwavu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka mu mwezi Nisani mu mwaka ogw'amakumi abiri ogwa Alutagizerugizi kabaka, omwenge bwe gwali guli mu maaso ge, ne nsitula omwenge ne nguwa kabaka. Era obw'edda bwonna nga sinakuwaliranga mu maaso ge.