Nehemiah 2:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Sanuballati Omukoroni ne Tobiya omukungu Omwammoni ne banakuwala bya kitalo okulaba nga waliwo omuntu azze okukolerera obulungi bw'Abayisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Sanubalaati Omukoloni ne Tobiya omukungu Omwamoni bwe baakiwulira, ne banyiiga nnyo bwe baamanya nga waliwo omuntu afuddeyo ku mbeera y’abaana ba Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sanubalaati Omukoloni ne Tobiya omuddu Omwamoni bwe baakiwulira, ne kibanakuwaza nnyo, kubanga omusajja azze okugezaako okuyamba abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Sanuballati Omuhoroni ne Tobiya omuweereza we Omwammoni, bwe baawulira nti waliwo omuntu azze okuyamba Abayisirayeli, ne banyiiga nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sanubalaati Omukoloni ne Tobiya omuddu Omwamoni bwe baakiwulira, ne kibanakuwaza nnyo kubanga omusajja azze okugezaako okuyamba abaana ba Isiraeri.