Nehemiah 2:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne nsituka mu kiro n'abasajja abatono be nali nabo. Saaliko gwe mbuulira Katonda wange kye yali antadde mu mutima nkikole mu Yeruzaalemu; saalina kisolo kirala kyonna, wabula ensolo kwe nali neebagadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne ngolokoka mu kiro ne ntambulatambula n’abamu ku basajja, naye ne sibuulira muntu n’omu ku ebyo Katonda wange bye yali atadde ku mutima gwange okukolera Yerusaalemi. Twagenda n’ensolo emu yokka gye nnali neebagadde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ngolokoka kiro, nze n'abasajja si bangi wamu nange; so saabuulirako muntu Katonda wange kye yateeka mu mutima gwange okukolera Yerusaalemi, so nga tewaali nsolo nange wabula ensolo gye nneebagalanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oluvannyuma ne ngolokoka ekiro, nga ndi wamu n'abasajja batonotono, nga sirina gwe mbuulidde kindi ku mutima, Katonda kye yaŋŋamba okukolera Yerusaalemu. Ensolo yokka gye nalina, ye nsolo gye nali neebagadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ngolokoka kiro, nze n'abasajja si bangi wamu nange; so saabuulirako muntu Katonda wange kye yateeka mu mutima gwange okukolera Yerusaalemi: so nga tewaali nsolo nange wabula ensolo gye nneebagala.