Nehemiah 2:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne neeyongerayo okulaga ku Mulyango gw'Oluzzi ne ku Kidiba kya Kabaka, naye ensolo kwe nali ntudde tewaali kifo w'egya kuyitira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’oluvannyuma ne neyongerayo eri Omulyango ogw’Oluzzi n’eri Ekidiba kya Kabaka, naye ensolo yange n’eteyinza kuyitawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne nneeyongerayo eri omulyango ogw'oluzzi n'ekidiba kya kabaka; naye nga tewali kkubo ensolo gye nneebagadde ly'eneeyitamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne neeyongerayo, ne ntuuka ku Mulyango gw'Oluzzi, ne ku Kidiba kya Kabaka. Naye eyo nga teri kkubo mwe nnyinza kuyisa nsolo gye nali neebagadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne nneeyongerayo eri omulyango ogw'oluzzi n'ekidiba kya kabaka: naye nga tewali kkubo ensolo gye nneebagadde ly'eneeyitamu.