Nehemiah 2:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe ntyo ne nnyambuka ekiwonvu mu nzikiza, ne nekkaanya bbugwe; oluvannyuma ne nkomawo ne nyingira nga mpita mu Mulyango gw'Ekiwonvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyennava nserengeta mu kiwonvu ekiro nga ŋŋenda neetegereza bbugwe. Bwe namaliriza ne nkyuka ne nkomawo nga mpitira mu Mulyango ogw’omu Kiwonvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne nnyambuka kiro awali akagga, ne nneetegereza bbugwe; ne nkyuka ne nnyingira mu mulyango ogw'omu kiwonvu, ne nkomawo bwe ntyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne nvaayo nga bukyali kiro, ne mpita mu kiwonvu, nga bwe neetegereza ebisenge, ne nzirayo mu kibuga, nga mpita mu Mulyango gw'Ekiwonvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne nnyambuka kiro awali akagga, ne nneetegereza bbugwe; ne nkyuka ne nnyingira mu mulyango ogw'omu kiwonvu, ne nkomawo bwe ntyo.