Nehemiah 2:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaami baali tebamanyi gye ndaze yadde kye nkola, kubanga nali sinnabuulirako Bayudaaya, yadde bakabona, abakungu, abafuzi n'abalala bonna abaali ab'okukola omulimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakungu tebaamanya gye nnali ndaze newaakubadde kye nnali nkola; era nnali sinnabuulirako Bayudaaya newaakubadde bakabona, newaakubadde abakungu newaakubadde abakulu, n’abalala abaali bateekwa okukola omulimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakulu ne batamanya gye nnagenda newakubadde kye nnakola; era nnali sinnababuulira Abayudaaya, newakubadde bakabona, newakubadde abakungu newakubadde abafuga newakubadde abalala bonna abali ab'okukola omulimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakulembeze tebaamanya gye nali ndaze, wadde kye nakola. Era nali sirina kye nnaabulidde Bayudaaya bannange, bakabona oba abakungu, oba abakulembeze, wadde abalala bonna abaali ab'okukola omulimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abakulu ne batamanya gye nnagenda newakubadde kye nnakola; era nnali sinnababuulira Abayudaaya newakubadde bakabona newakubadde abakungu newakubadde abafuga newakubadde abalala abaakola omulimu.