Nehemiah 2:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mbagamba nti: “Mumanyi ennaku gye tulimu, kubanga Yeruzaalemu matongo n'emiryango gyakyo omuliro gwagyokya; mujje tuzimbe bbugwe wa Yeruzaalemu, tukome okuswala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne mbagamba nti, “Mulaba akabi ke tulimu; Yerusaalemi kizise, ne wankaaki waakyo ayokeddwa omuliro. Mujje tuddaabirize bbugwe wa Yerusaalemi tuve mu buswavu bwe tulimu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne mbagamba nti, “Mulaba bwe tuli obubi, Yerusaalemi, bwe kizise, n'enzigi zaakyo zookeddwa omuliro. Mujje tuzimbe bbugwe wa Yerusaalemi, tuleme okuba nate ekivume.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ndyoka mbagamba nti: “Mulaba akabi ke tulimu: Yerusaalemu kizise, n'enzigi zaakyo zookeddwa omuliro. Mujje tuzimbe ebisenge by'ekibuga, tuleme kuddamu kuswala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne mbagamba nti Mulaba bwe tuli obubi, Yerusaalemi bwe kizise, n'enzigi zaakyo zookeddwa omuliro: mujje tuzimbe bbugwe wa Yerusaalemi, tuleme okuba nate ekivume.