Nehemiah 2:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mbategeeza ng'omukono gwa Katonda omulungi bwe gwandiko, n'ebyo kabaka bye yali aŋŋambye. Ne bagamba nti: “Tusitukiremu tuzimbe.” Ne beekemba okukola omulimu omulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mbategeeza omukono gwa Katonda ogw’ekisa bye gwali gunkoledde, ne kabaka bye yaŋŋamba. Ne baddamu nti, “Tugolokoke tutandike okuzimba.” Era ne batandika omulimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mbabuulira omukono gwa Katonda wange bwe gwali omulungi ku nze; era n'ebigambo bya kabaka bye yambuulira. Ne boogera nti, “Tugolokoke tuzimbe.” Awo ne banyweza emikono gyabwe olw'omulimu ogwo omulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mbategeeza nga Katonda bwe yankolera eby'ekisa, era n'ebyo kabaka bye yaŋŋamba. Awo ne baddamu nti: “Tusituke tuzimbe.” Awo ne beetegeka okutandika omulimu ogwo omulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mbabuulira omukono gwa Katonda wange bwe gwali omulungi ku nze; era n'ebigambo bya kabaka bye yambuulira. Ne boogera nti Tugolokoke tuzimbe. Awo ne banyweza emikono gyabwe olw'omulimu ogwo omulungi